Proverbs 8:22-31


22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
nga tannabaako kirala ky’akola.
23Nateekebwawo dda nnyo,
ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 aNateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 bng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 cnga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 dNaliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 ebwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
amazzi galeme kusukka we yagalagira,
ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 fNnali naye ng’omukozi omukugu,
nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 gnga nsanyukira mu nsi ye yonna,
era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
Copyright information for LugEEEE